1 John 2

Kristo Omuwolereza Waffe

1 aBaana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. 2 bYe, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna. 3 cBwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. 4 dKyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. 5 eNaye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. 6 fOyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

7 gAbaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye. 8 hKyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.

9Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza. 10 iNaye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza. 11 jKyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.

12Baana bange abaagalwa,
mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
13 kEra nammwe abakulu, mbawandiikidde
kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.
Nammwe abavubuka, mbawandiikidde
kubanga muwangudde omubi.
Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,
kubanga mutegedde Kitaffe.

14 lMbawandiikidde mmwe abakulu
kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.
Mbawandiikidde mmwe abavubuka
kubanga muli ba maanyi
era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,
era muwangudde omubi.

Temwagalanga Nsi

15 mTemwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe. 16 nKubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi. 17 oEnsi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.

Omulabe wa Kristo

18 pBaana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ng’Omulabe wa Kristo bw’agenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ng’ekiseera ekisembayo kituuse. 19 qAbantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si b’ewaffe.

20 rKyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna. 21 sKyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula eby’obulimba n’eby’amazima. 22 tOmulimba y’ani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana. 23 uKubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.

24 vEkituufu kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Bwe munaakuumanga ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye, Omwana awamu ne Kitaffe banaabeeranga wamu nammwe. 25Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo.

26 wMbawandiikidde bino olw’okubanga waliwo abo ababalimbalimba. 27 xKyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.

28 yKaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bw’alirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lw’aliddirako.

29 zNga bwe mumanyi nti Mukama mutuukirivu, kirungi mutegeere nti oyo akola eby’obutuukirivu ye mwana we.

Copyright information for LugEEEE